Bwe nnayogeranga ku bubaka buno obw'omwoyo, emmeeme, n'omubiri, waalingawo obujulizi bungi n'abantu okubaako kye bakola okuva mu Korea mwennyini n'ebussuka w'amawanga. Bangi baagamba nti beezuula, ne bategeera bantu ba kika ki, era ne basobola n'okuddibwamu kungi nga bategeera ebyawandiikibwa ebizibu mu Baibuli saako okutegeera engeri y'okufunamu obulamu obutuufu. Abamu ku bantu abo baagamba nti kati balina ekiruubirirwa eky'okufuuka omuntu ow'omwoyo era beenyigire mu buzaalirwana bwa Katonda era nga balafubana nnyo okukituukako nga bwe kyawandiikibwa mu 2 Peetero 1:4, awasoma nti, " Ebyatuweesa ebisuubizibwa eby'omuwendo omungi ebinene ennyo, olw'ebyo mulyoke mugabanire awamu obuzaaliranwa bwa Katonda, bwe mwawona okuva mu kuzikirira okuli mu nsi olw'okwegomba.."
Hinweis: Dieser Artikel kann nur an eine deutsche Lieferadresse ausgeliefert werden.
Hinweis: Dieser Artikel kann nur an eine deutsche Lieferadresse ausgeliefert werden.